19 Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne ba Bbaabwe
21 Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.