Abazadde n’Abaana Baabwe
1 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. 2 "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: 3 Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi.