Pular para o conteúdo
Publicidade

Eseza 1:10-12,19

10 Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi, 11 okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ng’atikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu n’abakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala. 12 Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti n’agaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka n’asunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka.

19 Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.