Moluddekaayi Aweebwa Ekitiibwa
1 Ekiro ekyo Kabaka teyayinza kwebaka; era n’alagira ekitabo eky’ebijjukizo eky’ebigambo ebya buli lunaku, bisomebwe mu maaso ge. 2 Awo ne kisangibwa mu byafaayo nti Moluddekaayi yamanya olukwe lwa Bigusani ne Teresi babiri ku balaawe ba Kabaka abaali bakuuma omulyango nga baali bagezaako okutta Kabaka Akaswero, era nga Moluddekaayi ye yabaloopayo.
3 Kabaka n’abuuza nti, "Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw’ekyo?"
Awo abaweereza ba Kabaka ne baddamu nti, "Tewali kintu kye yali aweereddwa."
6 Awo Kamani n’ayingira, Kabaka n’amubuuza nti, "Anaakolebwa ki omusajja Kabaka gw’asanyukira era gw’ayagala okuwa ekitiibwa?" Kamani n’alowooza mu mutima gwe nti, "Ani Kabaka gwe yandisanyukidde okumuwa ekitiibwa okusinga nze?"
10 Awo Kabaka n’alagira Kamani nti, "Yanguwa ofune ebyambalo n’embalaasi nga bw’oyogedde, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku wankaaki wa Kabaka, ate waleme okubulako n’ekimu ku ebyo byonna by’oyogedde."
11 Awo Kamani n’addira ebyambalo, n’ayambaza Moluddekaayi, n’amwebagaza ku mbalaasi, era n’amukulembera mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira mu maaso ge nti, "Bw’atyo bw’akoleddwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa."