Pular para o conteúdo
Publicidade

Eseza 9:1,2,13,17,26

1 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa. 2 Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna.

13 Eseza n’addamu nti, "Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti."

17 Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.

26 Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako,

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.