Pular para o conteúdo
Publicidade

Okuva 10:21-23,28,29

Ekizikiza Kikwata mu Bamisiri

21 Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi ey’e Misiri; ekizikiza ekiyinza n’okuwulikika." 22 Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna ey’e Misiri okumala ennaku ssatu. 23 Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.

28 Falaawo n’agamba Musa nti, "Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa."

29 Musa n’addamu nti, "Nga bw’ogambye, nange siriddayo kukulaba."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.