21 Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro. 22 Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.
Publicidade