2 Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni. 3 Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, "Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala."
15 Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, "Kiki kino?" Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, "Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya.
19 Musa n’abagamba nti, "Tewabaawo omuntu n’omu agifissaako okutuusa enkeera." 20 Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.
Emmere y’oku Ssabbiiti
22 Awo ku lunaku olw’omukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa. 23 N’abagamba nti, "Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ "
24 Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; n’etewunya wadde okuzaala envunyu.