4 Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. 5 Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri."
14 Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. 15 Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, "Kiki kino?" Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, "Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya.