Pular para o conteúdo
Publicidade

Okuva 17:1-7

Amazzi Agaava mu Lwazi

1 Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 2 Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, "Tuwe amazzi tunywe." Musa n’abaddamu nti, "Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?"

3 Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, "Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?"

4 Musa n’akaabira Mukama nti, "Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja."

5 Mukama n’addamu Musa nti, "Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 6 Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe." Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 7 Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, "Mukama waali mu ffe oba taliiwo?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.