4 ‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu19:4 empungu Empungu enseera esutulira abaana baayo ku biwaawaatiro byayo ng’ebuuka (Ma 32:11). n’embeereetera gye ndi. 5 Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange. 6 Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri."
Publicidade