2 Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu. 3 Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira.