10 Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri."
11 Naye Musa n’agamba Katonda nti, "Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?" 12 Katonda n’amuddamu nti, "Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno."