13 Awo Musa n’abuuza Katonda nti, "Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?"
14 Katonda n’agamba Musa nti, "Ndi nga bwe Ndi," n’ayongera nti, "Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ "