Pular para o conteúdo
Publicidade

Okuva 30:1,6-8,10

Ekyoto ky’Obubaane

1 "Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. 6 Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.

7 "Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. 8 Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 10 Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo."Mukama

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.