Pular para o conteúdo
Publicidade

Okuva 30:34-38

Ebyakaloosa

34 Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 35 Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 36 Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 37 Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 38 Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.