Musa Atunuulira Ekitiibwa kya Mukama
12 Musa n’agamba Mukama nti, "Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’ 13 Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo."
14 Mukama n’addamu nti, "Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga."
15 Musa n’amugamba nti, "Obanga toogende naffe, totuggya wano. 16 Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?"
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Nzija kukola ekyo kyennyini ky’osabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu n’erinnya lyo."