Okwebaza n’Okusaba Katonda
3 Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 5 Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 6 Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.