Kukkiriza oba Kukuuma Mateeka
1 Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera? 2 Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 3 Muyinza mutya obutaba na magezi kutuuka awo, abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri?