1 Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 2 Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
Publicidade
Publicidade