1 Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 2 Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. 3 Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. 4 Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. 5 Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe.
Publicidade