20 Katonda n’ayogera nti, "Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga." 21 Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 22 Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, "Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi." 23 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
24 Katonda n’ayogera nti, "Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri." Bwe kityo bwe kyali.