Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 11:1-9

Omunaala gwa Babiri

1 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. 2 Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.

3 Ne bateesa nti, "Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi." Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. 4 Awo ne bagamba nti, "Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna."

5 Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6 Mukama n’ayogera nti, "Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 7 Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana."

8 Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 9 Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.