Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 12

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

1 Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, "Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

2 "Nange ndikufuula eggwanga eddene,

era ndikuwa omukisa,

n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,

olyoke obeere mukisa.

3 Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,

era buli alikukolimira nange namukolimiranga;

era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi

mwe galiweerwa omukisa."

Veja também