14 Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16 Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.
18 Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi14:18 Ssaalemi lye liyinzika okuba nga ly’erinnya ekkadde erya Yerusaalemi. eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 19 N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,
"Katonda Ali Waggulu Ennyo
Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
20 Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe
agabudde abalabe bo mu mikono gyo."
Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.