Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 16:1-4,16

Ibulaamu ne Agali

1 Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; 2 Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, "Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye."

Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.16:2 Obugumba kyatwalibwanga okuba ekibonerezo okuva eri Katonda. Era empisa mu biro ebyo yakkirizanga omukazi omugumba okulondera bba omuwala, bba gw’ayinza okuzaalako abaana. Abaana abo baabanga ba mukazi omugumba. 3 Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. 4 Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto.

Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we.

16 Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.