3 Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, "Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja." 4 Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, "Onotta abantu abataliiko musango. 5 Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango."
6 Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, "Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. 7 Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna."