Okuzaalibwa kwa Isaaka
1 Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu, era n’akolera Saala kye yasuubiza. 2 Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Katonda kye yamugamba.
6 Saala n’agamba nti, "Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera." 7 Era n’agamba nti, "Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi."