Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 22:1-3,5,7,8,11-14,18

Katonda Agezesa Ibulayimu

1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, "Ibulayimu!"

N’addamu nti, "Nze nzuuno."

2 Katonda n’amugamba nti, "Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa."

3 Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba. 5 Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, "Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo."

7 Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, "Taata."

Ibulayimu n’amuddamu nti, "Nzuuno mwana wange."

Isaaka n’amubuuza nti, "Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?" 8 Ibulayimu n’amuddamu nti, "Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa." Kale ne bagenda bombi.

11 Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, "Ibulayimu! Ibulayimu!"

Ibulayimu n’addamu nti, "Nze nzuuno." N’amugamba nti, 12 "Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati."

13 Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we. 14 Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Mukama alitugabirira22:14 oluusi ekifo ekyo kiyitibwa Yakuwayire, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.

18 era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.