6 Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi. 7 Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, "Taata."
Ibulayimu n’amuddamu nti, "Nzuuno mwana wange."
Isaaka n’amubuuza nti, "Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?" 8 Ibulayimu n’amuddamu nti, "Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa." Kale ne bagenda bombi.