14 Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo."
19 Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, "N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa."
27 N’agamba nti, "Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange."
58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, "Onoogenda n’omusajja ono?" N’addamu nti, "Nnaagenda."
67 Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.24:67 Waali wayiseewo emyaka esatu nga Saala afudde (17:17; 23:1; 25:20).