20 Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
21 Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 22 Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, "Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?" Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
23 Mukama n’amuddamu nti,
"Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,
abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,
omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,
era omukulu yaaliweereza omuto."
26 Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
Esawu Atunda eby’Obukulu Bwe
27 Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 28 Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.