Isaaka Abeera mu Gerali
1 Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki26:1 Abimereki Ono yali kabaka Abimereki mulala, eyali asikidde erinnya. Eyasooka yali yafa emyaka kinaana emabegako. kabaka w’Abafirisuuti. 2 Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, "Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga. 3 Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu. 4 Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa; 5 kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, n’akwata bye namukuutira, n’ebiragiro byange, n’ebigambo byange awamu n’amateeka gange." 6 Bw’atyo Isaaka n’abeera mu Gerali, 7 abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, "Mwannyinaze." Kubanga yatya okwogera nti, "Mukazi wange," ng’alowooza nti, "Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka," kubanga yali mulungi nnyo.
8 Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka w’Abafirisuuti n’atunula mu ddirisa, n’alaba Isaaka ng’azannya ne Lebbeeka mukazi we.