Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 27:6,13,15,16,27,41,43,45

6 Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, "Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti,

13 Nnyina n’amuddamu nti, "Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere."

15 Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto, 16 era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera.

27 N’amusemberera n’amunywegera, kitaawe n’awulira akaloosa ke ngoye ze n’amuwa omukisa ng’agamba nti,

"Wulira akaloosa k’omwana wange,

kali ng’akaloosa k’ennimiro

Mukama gy’awadde omukisa.

Enteekateeka ya Lebbeeka

41 Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, "Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta."

43 Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani, 45 Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.