Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 29:10,11,18,20,25,27,30

10 Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.

18 Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, "Nzija kukuweereza29:18 Anaawasa omugole ye yawangayo ebintu ebyogereza omuwala eri kitaawe w’omuwala (34:12). Kyokka bw’atabanga na kya kuwaayo, yapakasanga ewa kitaawe w’omuwala okumala ebbanga lye baalagaananga. emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri."

20 Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.

25 Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, "Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?" 27 Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu."

30 Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.