Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 3

17 N’agamba Adamu nti, "Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,

"ensi ekolimiddwa ku lulwo;

mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya

ennaku zonna ez’obulamu bwo.

18 Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu,

onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro.

19 Mu ntuuyo zo

mw’onoggyanga ekyokulya,

okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,

kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda."

Veja também