Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 3:8-13

8 Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. 9 Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, "Oli ludda wa?"

10 N’addamu nti, "Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka."

11 N’amubuuza nti, "Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?"

12 Omusajja n’addamu nti, "Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya."

13 Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, "Kiki kino ky’okoze?"

Omukazi n’addamu nti, "Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.