Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 4

12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi."

13 Kayini n’agamba Mukama nti, "Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 14 Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita."

15 Awo Mukama n’amugamba nti, "Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu." Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta. 16 Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.

Veja também