23 Lameka n’agamba bakazi be nti,
"Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;
mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;
nzise omusajja olw’okunfumita,
nga muvubuka, olw’okunkuba.
24 Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,
mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu."