8 Ne bamuddamu nti, "Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula." Awo Yusufu n’abagamba nti, "Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire."
12 Yusufu n’alyoka amugamba nti, "Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu; 13 mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we.
18 Awo Yusufu n’amuddamu nti, "Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu; 19 bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi."