Ekirooto kya Falaawo
1 Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira;
16 Yusufu n’addamu Falaawo nti, "Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo."
33 Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri.
40 Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo."
Ekirooto Kituukirira
46 Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna.
51 Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, "Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange." 52 Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, "Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera."