Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 41:1-8,16,25,32

Ekirooto kya Falaawo

1 Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira; 2 laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu. 3 Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lw’omugga. 4 Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo n’azuukuka. 5 Ate n’addamu okwebaka n’aloota ekirooto ekirala, laba ebirimba eby’emmere ey’empeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu. 6 Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba nabyo ne biddirira. 7 Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo n’azuukuka, laba nga kibadde kirooto.

8 Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.

16 Yusufu n’addamu Falaawo nti, "Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo."

25 Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, "Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola.

32 Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.