15 Falaawo n’agamba Yusufu nti, "Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula." 16 Yusufu n’addamu Falaawo nti, "Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo."
25 Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, "Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola.
28 "Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola. 32 Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu.