Yusufu Yeeraga Baganda be
1 Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, "Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange." Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be. 2 Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira.
3 Yusufu n’agamba baganda be nti, "Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?" Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.