9 Yuda, mwana w’empologoma.
Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
gwe ganaawuliranga.