15 Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, "Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola." 17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo." Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.
19 Naye Yusufu n’abagamba nti, "Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 21 Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe." Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.