Pular para o conteúdo
Publicidade

Olubereberye 7:1,6,7,11,13,16-18,24

1 Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, "Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.

6 Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi. 7 Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba.

11 Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. 13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. 16 Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.

17 Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi. 18 Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi.

24 Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.