Kristo Yeewaayo Omulundi Gumu ku lwa Bonna
1 Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. 2 Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. 3 Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. 4 Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.