Pular para o conteúdo
Publicidade

Hebreus 8

6 Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.

7 Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. 8 Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

"Laba ennaku zijja," bw’ayogera Mukama,

"ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,

awamu n’ennyumba ya Yuda.

9 Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe

lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.

Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,

nange ssaabassaako mwoyo,"

bw’ayogera Mukama.

10 "Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,

oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.

Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe

era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,

nange nnaabeeranga Katonda waabwe,

nabo banaabeeranga bantu bange.

11 Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,

Manya Mukama,

Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu

bonna balimmanya.

12 Era ndibasaasira,

n’ebibi byabwe siribijjukira nate."

13 Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.

Veja também