Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda
29 Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, "Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi.
Abayigirizwa ba Yesu Abaasooka
35 Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36 Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, "Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda."
37 Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu.